Kabaka nga akute ddamula.
Ddamula gwe muggo Kabaka gw’akwasa Katikkiro okumulamulirako Obuganda.
Obote bwe yamala okulumba Obwakabaka ne Kabaka Muteesa 11 adduse n’atandika okunoonya omuggo guno (Ddamula) agubbe.
Baamugamba nti bwe guba gukyaliwo, Obwakabaka ajja kuba asannyalazza busannyalaze nga bujja kuba bukyaliwo anti ne Kabaka yali amulemye okumuttira mu Lubiri.
Yatandika ekiwendo ky’okunoonya Ddamula n’eyali amukwese Nkangi wabula yakooterakootera mu ga lumonde.
Abadde mukwano gwa Nkangi Muwonge C.W. Magembe agamba nti nga Nkangi tannafa, yamuyise n’amusaba abuulire Obuganda ekyama kino ky’asirikidde emyaka 54!
Kwe kugamba, giri 29 emyakagye yatereka era Ddamula okuva mu 1963 gattako ne gino 24 okuva mu 1993 lwe yamuzzaayo n’akwasibwa Mulwanyammuli Semwogerere.
Muwonge Magembe, munoonyereza era muwandiisi wa byafaayo yadde nga mukugu mu byanfuna n’okubala ebitabo abadde ku lusegere ne Nkangi era abadde ategeka okumuwandiikira kitabo.
Annyonnyola bw’ati, “Omwaka oguwedde nga Nkangi atandise okunafuwa, yampita mu ofiisi ye esangibwa mu kibangirizi kya bannamakolero e Nakawa ku luguudo lwa Port Bell n’aηηamba nti, Muwonge njagala okwate ekitabo n’ekkalaamu owandiike ebintu bino sikulwa nga nfa nabyo ensi n’etabimanya.
Mu ofiisi twatuula okuva ku ssaawa 7. 00 ez’emisana okutuuka 1. 00 ey’akawungeezi era yanfalaasira nti by’ahhamba tabibuulirangako muntu mulala yenna era abihhamba kuba akizudde nti nnettanidde okunoonyereza n’okuwandiika ebyafaayo.
Wano we yambuulirira ekyama ekimaze emyaka 53 nga takibuulirangako muntu mulala. Ky’ekifo we yakweka Ddamula n’engeri gye yagikwekayo. Bwe yalaba empalana Obote gye yalina ku Kabaka n’asalawo okuyiiya ekifo w’anaakweka Ddamula.
Okukakasa nti enkolagana tekyali nnungi, eyali minisita wa Obote ku nsonga z’amateeka, Grace Ibingira ne William Kalema baamukyalira ne bamutegeeza nga Obote bw’atali musannyufu ku ngeri Abaganda gye baali baanirizaamu Kabaka n’emizira ng’ate ye eyali Katikkiro yali tafuna mizira gye gimu.
Baamuwa n’ekyokulabirako ky’omupiira ogwali mu kisaawe e Nakivubo nga Kabaka bwe yatuuka abantu bamwaniriza n’enduulu ey’oluleekereeke wabula ng’ate ye Obote bwe yatuuka engalo ze baamukubira zaali tezimmuka.
Kino kyaluma Obote ate bwe yabuulirako munne Ibingira eyali mukwano gwa Kabaka Muteesa yamwanuka nti, ‘tofaayo oba Abaganda tebakwaniriza mu kitiibwa, bw’onaagenda ewamme Akokolo, Abalango banaakukubira enduulu z’ayagala nga bakwaniriza.
Bino byaleetera Nkangi okumanya nti Obote afunye “akasajja ku mutima” – ffitina era ekkonda Obote lye yalina ku Buganda lyajjula ne lufuuka ng’ekikoomi ekimaze ebbanga nga kinyooka.
Ddamula yagikweka wa?
Nkangi yategeeza Muwonge nti, olukiiko lwa Buganda bwe lwatuula nga May 22 1966, ng’Amasaza ga Buganda gazaaye, lwasalawo okugoba Gavumenti ya Obote okuva ku ttaka lya Buganda ekiteeso ekyawa Obote omwagaanya n’ekyekwaso okulumba Obwakabaka. Ku lunaku olwo, Nkangi Ddamula yagirina mu ofiisi ye.
EKITEESO KAZAALA BULWA
Omubaka George Kaggwa (Kooki) bw’amala okuleeta ekiteeso ekigoba Gavumenti ya Obote ku ttaka lya Buganda, Katikkiro Nkangi y’aggya n’akuba Sipiika w’Olukiiko Eliphaz Kalule n’omumyuka we Shiekh Islam Kulumba akaama.
Yabasaba olukiiko luyimiriremu ayogereko n’omubaka eyaleese ekiteeso. Yayambuka mu ofiisi n’awabula Kaggwa nti ekiteeso kye kya bulabe era kuba kuzannyira mu ngalo za Obote kwe kumusaba ekiteeso bakirongooseemu bagambe nti, singa Obote tazzaawo Konsitityusoni gye yali amenye, Buganda yali egenda kumuloopa. Kaggwa yakikkiriza olukiiko ne luddamu.
Sipiika Kalule yaddamu okubuuza Kaggwa oba alina ky’akyusa mu kiteeso ssaako n’okwanjula ekiteeso ekirala Kaggwa n’agamba nti akyalemedde ku kiteeso ekyasoose.
Binaisa abiyingiramu
Wakati mu kusaakaanya olwa Kaggwa okulemera ku kiteeso, ababaka okuli James Lutaaya Kaganda (Mukwenda), Lameck Sebannaakitta (Kimbugwe) ne Micheal Matovu Sebbwaage(Pookino) baakulemberamu okuwagira Kaggwa n’okulumba Nkangi nga bamulanga okulya mu Buganda olukwe n’okwekkiriranya.
Bino byali bigenda mu maaso nga waliwo abibuulira eyali Ssaabawolereza wa Gavumenti ya Obote, Godfrey Lukongwa Binaisa QC.
Kabaka ng’akwasa eyali Katikkiro J.B Walusimbi Ddamula.
Ono yawandiikira Obote akapapula okuli amannya g’Abamasaza abasatu n’amutegeeza nti bano be babadde bakolera effujjo mu lukiiko.
Amangu ddala bonsatule baakwatibwa.
Akubira mukulu we essimu
Bw’amala okulaba effujjo lye baamukolako ne bye baamwogerera mu lukiiko, yeetoloolamu n’akubira mukulu we essimu, Grace Lumala Kalemba n’amugamba ajje mangu e Bulange.
Olwatuuka n’amukwasa Ddamula n’amulagira alinnye emmotoka agitwalire mwannyina Yozefina Balintisa Nassaka agitereke.
Olw’okuba akavuyo kaali mu kisenge kya Lukiiko, tewali yafaayo ku Kalemba ng’afulumya Ddamula era Nkangi n’akomawo olukiiko ne lugenda mu maaso ng’abakiise beekalakaasa n’okwogera ebisongovu nga tewali amannyi nti Ddamula yali agifulumizza.
Baali ku mukolo gw’okukungubagira Amasiro g’e Kasubi agaayokebwa
Ddamula etuuka e Masaka
Nkangi agamba nti olugendo olutuusa Ddamula terwalimu kizibu kyonna era yatuukira mu maka ga mwannyina Nassaka ku kyalo Kalama mu muluka gw’e Kasambya e Kyamuliibwa mu disitulikiti y’e Kalungu.
Nassaka eyatereka Ddamula yafa emyaka 12 egiyise. Ng’oggyeeko okuba nga mwanyina Nasakka gwe yali yeesiga, yali n’ensonga endala ekwata ku buwangwa eyamukozesa ekyo.
Ensonga yali nti Nassaka yali mukyala atalina musajja noolwekyo Ddamula erina okukuumibwa mu nnyumba omutabeera bikolwa bya kwegatta mu mukwano.
Ekyokubiri, mwannyina Nassaka yali mukazi wa mmizi nga tayinza kubaako muntu yenna gw’ayinza kubuulira kyama ekyo.
Nkangi ne Bagaya ow’e Toro mu kusaba okumu e Namirembe.
Obote ayigga Ddamula
Nga amaze okumatira nti Ddamula eri mu mikono mituufu, yadduka n’agenda mu maka g’Omutaka Kabazzi e Mmengo.
Eno gye yasula ekiro kya May 24. Yavaayo n’agenda e Kawempe n’awulira ku Leediyo nga Obote alangirira ekiwendo ky’okukwata Nkangi buli wonna w’alabiddwaako era n’alabula omuntu yenna amukwese nti w’amusangira ajja ku mubendeggera.
Nkangi teyalinda binaddirira n’atolokera ku loole ya seminti ng’abikkiddwaako ettundubaali okutuuka e Busia n’agenda e Kenya ng’eno gye yava okugenda e Bungereza.
Muwonge abadde amanyiganye ne Nkangi ng’abuzaayo wiiki ssatu afe, yamusaba amunoonyeze eddwaaliro e Bungereza gye basobola okumujjanjabira bw’ekibumba